b nny 8 Ma 32:44

Numbers 13:4-16

4Amannya gaabwe ge gano:

Eyava mu kika kya Lewubeeni yali Sammuwa mutabani wa Zakula.
5Eyava mu kika kya Simyoni yali Safati mutabani wa Kooli.
6 aEyava mu kika kya Yuda yali Kalebu mutabani wa Yefune.
7Eyava mu kika kya Isakaali yali Igali mutabani wa Yusufu.
8Eyava mu kika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Nuuni.
9Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu.
10Eyava mu kika kya Zebbulooni yali Gadyeri mutabani wa Sodi.
11Eyava mu kika kya Manase, ky’ekika kya Yusufu, yali Gaadi mutabani wa Susi.
12Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali.
13Eyava mu kika kya Aseri yali Sesula mutabani wa Mikaeri.
14Eyava mu kika kya Nafutaali yali Nakabi mutabani wa Vofesi.
15Eyava mu kika kya Gaadi yali Geweri mutabani wa Maki.

16 bAgo ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.
Copyright information for LugEEEE